OBUBAKA BWA SSAABASAJJA KABAKA OBW'AMAZAALIBWA GA YESU KRISTO
N'OMWAKA OMUGGYA 2024 - 2025
Twegatta n'abantu mwenna okwebaza Katonda olw'ebirungi by'atukoledde n'okusingira ddaial obulamu.
Tubaagaliza okukuza ennaku enkulu n'omwaka omuggya ogw'emirembe. Tubasaba okwongera amaanyi mu buli kye mukola kitusobozese okubeera n'obuwanguzi.
Essala zammwe, Mukama azaanukula era kati tuzze buggya mu bulamu ne mu ntegeka zaffe zonnna. Temuggwaamu maanyi. Ensi yetaaga abavumu abalengera amangu ebitujja ku mulamwa.
Abavubuka tubakubiriza obutassa kintu kyonna mu nkcla nga temwetegereza oba okwebuuza ku bantu abakulu. Tulafuubane okwezza obuggya, nga twemalira mu kunyweza ennono n'empisa zaffe ezitunywereza awanu.
Enteeseganya ezibeera mu Palament: yaffe zireme kuggweera mu bigwo. Kino kitwennyamiza nnyo okulaba nga gye tusuubira obwenkanya n'ebirowoozo ebizimba eggwanga, waliyo ntalo! Empisa eno etuuse ne mu nkiiko endala eza gavumenti
ez'ebitundu etweralikiriza nga twebuuza, nti ebiteesebwa bituyaniba oba biyamba wa maanyi yekka?
Enteeseganya ezifaanana bwezityo, ziraga nti, waliwo okunyigirizibwa era okwetaaga okugonjoola awatali kusosola wadde okunyigiriza ekitundu omubaka aleese ekiteeso
gy' asibuka.
Omwaka omuggya 2025, twetekerateekera okulonda abakulembeze baffe ku mitendera egy'enjawulo. Tubasaba okwenyigira mu nteekateeka zino, kyokka nga temwerabidde nti,
twagala abakulembeze abalina omwoyo gw'eggwanga era abanaatambuza Obwakabaka bwaffe mu Uganda eyawamu.
Tufubirire okukola ennyo, okwejja mu bwavu, tetussa mukono
mu kusimba emmwanyi n'ebirime ebirala ebyettunzi. Buli kye
mukola mukikoze maanyi na bumalirivu, naye nga temwerabidde nti omuyaga gujja kukka. Mwongere okutusabira mu bukulembeze ne mu bulamu.
Tubaagaliza amazaalibwa ga Mukama waffe Yesu Kristu nga tuluubirira okwezza obuggya mu buli kimu. Omwaka omuggya gubeere gwa kwebuulirira. Twongere okwefumitiiriza ku kirungi n'ekibi.
Ronald Muwenda Mutebi II
КАВАКА
OBUBAKA BWA SSAABASAJJA KABAKA KU MUKOLO GW'ENNYIMBA Z'AMAZAALIBWA GA KRISTO N'OKUSIIBULA ABAWEEREZA NGA
20 DECEMBER 2024, MU BULANGE MENGO
2024
Tusanyuse okubalaba era tubalamusizza nnyo mwenna.
Tubakulisa okumalako omwaka 2024 era tubeebaza olw'emirimu gyonna gye mukoze.
Twebaza nnyo Katonda olw'ekirabo eky'obulamu eri mmwe mwenna era tumusaba ayongere okutukuuma.
Abaweereza b'Obwakabaka gwe mutima gwa Buganda mu by'emirimu. Mmwe mwetooloolerwako enteekateeka zonna ezitusobozesa okutuusa obuweereza ku bantu ba Buganda.
Omwaka 2024 gubaddemu ebisoomooza bingi naye tubeebaza olw'obutava ku mulamwa ne musigala nga muli banywevu wakati mu muyaga! Kale mugenderaawo!
Tuyingidde ekiseera eky'ebikujjuko eby'ennaku enkulu, mbaagaliza oluwummula olulungi. Kyokka tubasaba mubeere beegendereza mu byonna bye mukola.
Ebidduka mubivuge nga mugoberera amateeka g'okunguudo. Mwekuume obulwadde bwa mukenenya era mwewale obutabanguko mu maka.
Twebaza nnyo kwaya ezituyimbidde obulungi olwaleero wam n'abateeseteese omukolo guno.
Tubaagaliza Ssekukkulu ennungi n'omwaka omuggya 2025 ogw'emirembe n'essanyu.
Katonda abakuume.
Ronald Muwenda Mutebi II
КАВАКА
SSAABASAJJA OKWOGERA KWE NKUKA MU LUBIRI
"Abagenyi mwenna nsanyuse nnyo okubalaba, mwebale nnyo kujja. Tubeebaza emirimu gyonna gyemukola era tubakulisa okuyita mu mwaka gwetumalako olwa leero.
Tudddamu okwebaza essaala zammwe zemwatusabira mu bujjanjabi bwetuyiseemu, tubaagaliza omwaka omuggya ogw'emirembe n'obuwanguzi.
Ye Katikkiro ategeezezza Ssaabasajja Kabaka nti essuubi ly'abantu mu Buganda liri mu Nnamulondo era abantu bwe bakulabako emitima gibadda mu nteeko. Omwaka guno abantubo bano baamala ebbanga ggwanvu nga bammanja Ssaabasajja. Era mmwe abazze mwesiimye nti Ssaabasajja Ali nammwe.
"Ka mbabuulire nti teri muntu ayinza ku kwagala kusinga kitaawo, ffe mu Buganda Kabaka ye kitaffe era yatuwadde obubaka mwabaddemu ennyingo 12 bwe munaazigenderako 2025 mugenda ku mumalako nga muli bawanguzi".
Katikkiro aloopedde Beene enteekateeka z'entanda ya Buganda evuganyiziddwamu abantu abasobye mu 30 abaawano n'emitala w'amayanja, era John Kizito Lukoma ye muzira mu bazira 2024, ow'emitala wa mayanja ye John William Kizito, era Beene asiimye n'awa John Kizito Lukoma ekyapa ky'ettaka, pikipiki kapyata, n'obukadde bwa siringi butaano.
IMG-20250111-WA0002 (jpg)
DownloadHis majesty waving to the people at the CBS concert 2024.
Copyright © 2025 Kabaka's Office - All Rights Reserved.