SSABASAJJA'S OFFICIAL CHRISTMAS & NEW YEAR SPEECH FOR 2024-2025
"Twegatta n'abantu mwenna okwebaza Katonda olw'ebirungi by'atukoledde n'okusingira ddala obulamu.
Tubaagaliza okukuza ennaku enkulu n'omwaka omuggya ogw'emirembe. Tubasaba okwongera amaanyi mu buli kye mukola kitusobozese okubeera n'obuwanguzi.
Essala zammwe, Mukama azaanukula era kati tuzze buggya mu bulamu ne mu ntegeka zaffe zonnna. Temuggwaamu maanyi. Ensi yetaaga abavumu abalengera amangu ebitujja ku mulamwa.
Abavubuka tubakubiriza obutassa kintu kyonna mu nkola nga temwetegereza oba okwebuuza ku bantu abakulu. Tulafuubane okwezza obuggya, nga twemalira mu kunyweza ennono n'empisa zaffe ezitunywereza awamu.
Enteeseganya ezibeera mu Palament: yaffe zireme kuggweera mu bigwo. Kino kitwennyamiza nnyo okulaba nga gye tusuubira obwenkanya n'ebirowoozo ebizimba eggwanga, waliyo ntalo! Empisa eno etuuse ne mu nkiiko endala eza gavumenti ez'ebitundu etweralikiriza nga twebuuza, nti ebiteesebwa bituyaniba oba biyamba wa maanyi yekka?
Enteeseganya ezifaanana bwezityo, ziraga nti, waliwo okunyigirizibwa era okwetaaga okugonjoola awatali kusosola wadde okunyigiriza ekitundu omubaka aleese ekiteeso gy' asibuka.
Omwaka omuggya 2025, twetekerateekera okulonda abakulembeze baffe ku mitendera egy'enjawulo. Tubasaba okwenyigira mu nteekateeka zino, kyokka nga temwerabidde nti,twagala abakulembeze abalina omwoyo gw'eggwanga era abanaatambuza Obwakabaka bwaffe mu Uganda eyawamu.
Tufubirire okukola ennyo, okwejja mu bwavu, tetussa mukono mu kusimba emmwanyi n'ebirime ebirala ebyettunzi. Buli kye mukola mukikoze maanyi na bumalirivu, naye nga temwerabidde nti omuyaga gujja kukka. Mwongere okutusabira mu bukulembeze ne mu bulamu.
Tubaagaliza amazaalibwa ga Mukama waffe Yesu Kristu nga tuluubirira okwezza obuggya mu buli kimu. Omwaka omuggya gubeere gwa kwebuulirira. Twongere okwefumitiiriza ku kirungi n'ekibi."
Ronald Muwenda Mutebi II
КАВАКА
Say something interesting about your business here.
What's something exciting your business offers? Say it here.
Copyright © 2025 Kabaka's Office - All Rights Reserved.